Amawulire

Abateberezebwa okuba abatujju bakwatiddwa

Ali Mivule

March 13th, 2015

No comments

muslim cleric killed

Poliisi ye mukono eriko abantu mukaaga b’ekutte nga bateberezebwa okubeera na kakwate ku bayeera ba ADF.

Mu  bakwatiddwa kuliko Sheik Abubaker Kayiwa Imaam w’omuzikiti gwe kitega Wantoni era nga y’abadde avuga ambulensi y’omubaka Betty Nambooze Bakireke.

Ono okumukwata bamulimbye nga bwebalina omulwadde awo nebakwata kiwedde

Yye omulala Muhamedi Mbaziira bamusanze mu maka ge nebamukwata saako n’abakyala balala abatasobodde kutegerekeka mannya ngabwe.

Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye mukono Henry Ayebare akakasizza okukwatibwa kw’abantu bano era n’ategeeza nti akabinja kano kalina akakwate n’abayeekera ba ADF.

Agenze mu maaso n’ategeeza nti bano bwebakwatiddwa okuva mu bitundu bya mukono ebyenjawulo era nga batwaliddwa ku kitebe kya SIU ng’okunonyereza bwekugenda mu maaso.