Amawulire
Abatawaangudde mubaddize ku ssente
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole kya Alliance for Finance monitoring abalondoola enkozesa ya ssente mu byobufuzi, basabye nti waberew enkyukakyuka mu mateeka gebyokulonda, agakirza okuzaayo ssente zokwewandiisa eri abantu ababadde bavuganya ku bifo byobukulembeze.
Bano mu alipoota yaabwe balaze nti akakiiko kebyokulonda kaakukanganya obuwumbi 7 nobukadde 900 okuva mu bantu abewadiisa okuvuganya ku bifo byababaka ba palamenti, ate nebakunganya obukadde 220 okuva mu baavuganya ku kifo kyomukulembeze we gwanga.
Kati ssenkulu wekitongole kino Henry Muguzi agamba nti waliwo obwetaavu, amateeka okulongosebwamu ssente zino okuddayo eri abantu abamu abatawangudde.
Agamba nti akakiiko kebyokulonda kasaanye nokuvaayo mu bwerufu okulaga ssente zino zebakunganya baziteeka wa.
Wabula mu mateeka ssente zino zitekeddwa, okudda mu nsawo enzibizi.