Amawulire

Abataamatira ku byava mu kulonda ku kifo kyóbubaka bwa palamenti k’ekaseera okugenda mu kkooti

Abataamatira ku byava mu kulonda ku kifo kyóbubaka bwa palamenti k’ekaseera okugenda mu kkooti

Ivan Ssenabulya

February 20th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akakiiko ke byokulonda kagamba nti bonna abavuganya ku bubaka bwa palamenti mu kulonda akwakagwa ne batakkiriziganya ne byavamu baddembe okugenda mu mbuga za mateeka bafune obwenkanya.

Kino kidiridde okutongoza ababaka abayitamu okukiika mu palamenti eyómulundi ogwe 11.

Mu kwogerako ne lediyo eno, akolanga omwogezi wákakiiko ké byókulonda Paul Bukenya,agambye nti kino kye kiseera bonna abatamatira ne byava mu kalulu okwekubira enduulu.

Mungeri yemu Bukenya agambye nti bali mu kutekateeka ne byava mu kulonda okwa gavt eze bitundu era mu bwangu nabyo byakutekebwa mu gazette.