Amawulire
Abatalina ndaga muntu ebya loogi mubyesonyiwe
Bya Abubaker Kirunda
Abobuyinza nebananyini zzi lodge mu Kabuga ke Buwenge mu district ye Jinja basazeewo nti tebajja kukiriza muntu yenna, mu kisulo nga talina ndaga muntu.
Mu lukiiko lwabananyini ludge olwatudde, omuddumizi wa poliisi mu Kiira North Henry Mugarura , kino kigendereddwamu okulwanyisa abamenyi bamateeka, ebkukuma muzzi lodge.
Abazzi lodge bakanyizza wabula nebasaba poliisi okubadukiriranga mubudde mwebabayitiddemu.