Amawulire

Abatalina mirimu betaaga obuyambi bwa gavumenti

Abatalina mirimu betaaga obuyambi bwa gavumenti

Ivan Ssenabulya

November 15th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ekitongole ekivunanyizibwa ku kutegekera egwanga ekya National Planning Authority kisabiddwa okuvaayo, okutema empenda ezobuliwo okuyamba abantu abatalina mirimu, abagifiirwa mu muggalo gwa ssenyiga omukambwe.

Okusinziira ku kitongole kino, mu kulagula kwabwe obwa buli wiiki ku mbeer yekirwadde kya ssenyiga omukambwe, ebibalo byabalwadde aba buli lunnaku bigene bikendeera era byakwongera okukendeera.

Kinajjukirwa nti mu kwogera kwe okwasembayo ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe, omukulembeze wegwanga Yoweri Museveni yasubiza nti ebyenfuna byegwanga byonna byakuggilwawo mu January omwaka ogujja 2022 abantu bebanamanya ne bwebanaaba tebagemeddwa.

Wabula alipoota eyefulumiziddwa aba Sauti Za Wananchi, oluvanyuma lwokunonyereza kwebakoze eraga nti omuntu 1 ku buli bantu 10, nga 8% tebalina mirimu, baasigala mubwa ssemugayaavu.

Embeera eno okusinga eri mu bibuga, ku 10% tenga mu byalo ebibalo byimiridde ku 7%.

Abatalina mirimu 4 ku 10 abakola 39% bagambye nti besigama ku buyambi bwa mikwano gyabwe.