Amawulire

Abatalina kaabuyonjo tebagenda kubawa mazzi

Abatalina kaabuyonjo tebagenda kubawa mazzi

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2019

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Abatuuze abamu mu gombolola ye Butenga mu district ye Bukomansimbi, bandifiirwa omukisa gw’okufuna amazzi amayonjo oluvannyuma lw’abakulira ekitongole ky’amazzi okutegeeza nga bwebatagenda kuwa maka aganaasangibwa nga tegalina zi kabuyonjo.

Gavumenti ng’eyita mu kitongole ky’amazzi, yatandika ku polojekiti okubunyisa amazzi mu gombolola ye Butenga egenda okumalwo obuwumbi 10.

Omubaka wa gavumenti e Bukomansimbi Sazir Nsubuga gambye nti kino kyakanyizddwako, mungeri yokuteeka abantu ku nninga basime zzi kabuyonjo.

Ono asabye abatalina kabuyonjo okukola ekisoboka bazisime.

Ebyalo ebigenda okuganyulwa kuliko Butenga A, B ne C, Kavule, Serinnya, Mukunyu, Kiwenjula, Gayaza, Kigaba, Bugana, n’ebirala bingii.

Kati ssentebbe wa district Muhamadh Kateregga agambye nti tebajja kukiriza, bantu abatalina buvunyzizbwa okulemasa entekateeka yamazzi.

Polojekiti eno yaweebwa kampuni ya Ambitious Construction Company Limited nga yaakutandika mu Sebutemba, era esubirw aokujibwako engalo mu July w’omwaka ogujja.