Amawulire

Abatali ku lukalala mulinde omwaka ogujja

Ali Mivule

January 27th, 2014

No comments

 MUK

Abayizi be Makerere abatali ku lukalala lw’abalina okutikkirwa basabiddwa okugumikiriza okutuuka omwaka ogujja

Kiddiridde abayizi abamu okutandika okwemulugunya nti tebali ku lukalala lw’abagenda okutikkirwa olunaku lw’enkya

Omwogezi w’ettendekero lino Ritah Namisango agamba nti abatali ku lukalala tebamalangayo fiizi ate abalala balina empappula zebaagwa nga balina okuziddamu.

Abayizi omutwalo gumu mu nekumi bbiri beebgenda okutikkirwa mu masomo agatali gamu.