Amawulire

Abatabbuliiki betta lwa nsimbi- abatta Kiirya olukwe baalulukira ebbanga

Ali Mivule

July 6th, 2015

No comments

Poliisi kyaddaaki efulumizza alipoota ku kuttibwa kw’abayisiraamu abazze battibwa mu myezi ena egiyise

Alipoota eno etunuulidde abakulembeze b’abayisiraamu kkumi abazze battibwa ng’ensonze ku nkayaana mu batabuliiki nga bakayaanira byanfuna

Alipoota ya poliisi eyogera ku nsimbi eziva mu mawanga ga Buwarabu okuba nti zeezizadde obuzibu.

Ng’afulumya alipoota eno, omwogezi wa poliisi Fred Enanga agambye nti ebikolwa by’ettemue bisinga bikolebwa abatali bamativu abakwatagana n’abayekeera ba ADF okutta abo beebalowooza nti babalyaako.

Enanga agamba nti mu bitundu bya Busoga, basobodde okukwata abantu abasoba mu 30 nga bakulemberwa Salim Ali Yaya kyokka nga mu masekkati g’ekibuga, abantu bataano abalina n’emmundu bakyalya butaala

Mu kadde kano abantu basatu beebakwaktibwa ku bukwatagana n’okuttibwa kwa Sheikh Hassan Kiirya nga ku bano kuliko omukyala Hawa Kasujja

Poliisi era mu b’ekutte kwekuli n’omupangisa w’omugenzi sheikh Kiirya ng’ono kigambibwa okuba nti yoomu ku bakubirakubira omugenzi essimu ng’amubuuza w’atuuse.

Kigambibwa okuba nti ono yamugamba nti alina ssente ze ez’obupangisa era nga yoomu ku beebasemba okwogera naye

Enanga agamba nti omupangisa ono kiteberezebwa nti n’okupangisa ku mayumba ga Kiirya yali ku lukwe

Bbo ababalala abakwatiddwa kizuuliddwa nti babadde bakuba enkiiko okuva mu gw’okubiri nga batuula mu maka ga Sheikh Siraje Kawooya ne ku King Fahad Primary nga bateesa ku ngeri y’okuttamu sheikh Hassan Kiirya.

Ekibinja kino poliisi egamba nti kyekyatta eyali amyuka ssabawaabi Joan Kagezi.