Amawulire

Abasuuubuzi e Mukono gebakaaba gebakomba

Abasuuubuzi e Mukono gebakaaba gebakomba

Ivan Ssenabulya

March 7th, 2023

No comments

Bya Kiguli Diphas,

Ebintu ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi bitokomokedde mu nabbambula w’omuliro atanategerekekako gyavudde mu kibuuga Mukono amadduka asaatu ku kyalo Upper Kauga negasaanawo.

Okusinziira kw’omu ku bannayini maduuka gano Emmanuel Mugerwa agamba nti emmaali mpitirivvu esanyeewo mu kiifo kino era nga basabye gavumenti okubakwasizako kubanga ekifo kino kibadde kiganyula abavubuka abasuuka mu makuumi ataano.

Ebimu ku bisirikidde mu muliro kuliko pikipiki ezibadde zitambuza eby’amaguzi byaabwe, machine ezibadde zikola emirimu gya welding, cement nebirala.

Nanyini kifo kino Sheem Kyeswa asabye police enzimya mwotto okumaliriza amangu okunonyereza nti kubanga ekiifo kino kirudde nga kiriko enkayana so nga balina okutya nti bebakayana nabo bandiba nakakwate ku muliro guno.