Amawulire

Abasuubuzi mu katale e Lukaya bemulugunya

Abasuubuzi mu katale e Lukaya bemulugunya

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2022

No comments

Bya Gertrude Mutyaba,

Abasubuzi abakolera mu katale ke Lukaya mu district ye Kalungu bemulugunya kungeri akatale kano gyekaazimbibwamu, mungeri gyebagamba nti yali ya gadibe ngalye.

Bagamba nti enkuba bwetonnya balemesebwa okukola olw’amazzi amangi aganjaala mu katale kano.

Bagamba nti bakolera mu kufiirwa.

Ssentebe wa disituliki ye Kalungu Nyombi Mukiibi Khamadi agambye nti akatale kajja kuyamba bantu ba bulijjo kyokka yewuunya nti abakozi ba gavumenti baagala kusonda nsimbi ezikadaabiriza.

Omubaka wa gavumenti e Kalungu Paddy Kayondo alabudde abakozi ba gavumenti abatayagala kulondoola pulojekiti za gavumenti nokukola emirimu egitataukiridde.