Amawulire

Abasuubuzi ewa Kisekka beekalakaasizza

Ali Mivule

September 4th, 2014

No comments

Embeera ezze mu nteeko mu katale ka Kisekka abasuubuzi gyebabadde batanudde okwekalakaasa.

Kisekka traders again

Abasuubuzi bano bamaze akabanga nga beezoba ne poliisi gyebagamba nti ekutte munaabwe okutuuka aba militale bwebayitiddwa

Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi bano ababadde bakumye ebipiira mu luguudo.

Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa kampala, James Ruhweza agamba nti poliisi yakusigala mu katale okulaba nti tewabaawo buzibu bwonna

Mu ngeri yeemu era Ruhweza agambye nti bagenda kunonyereza ebigambibwa nti abakutte munaabwe ategerekeseeko erya Kamoga bakozesezza eryaanyi erisukkiridde

Bbo nno abasuubuzi bagamba nti kyebatayagala ye poliisi okumalinnyako ng’ebakwata buli w’eyagalira

Yye omwogezi w’akatale kano Simon Lubwama agamba nti keekadde poliisi emanye nti erina okukwatagana nabo mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *