Amawulire
Abasuubuzi ba KACITA bawakanyiza omusolo gwa Textiles Policy
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira abasuubuzi bómu Kampala ki ekya KACITA kyekubidde enduulu eri minisitule eyébyensimbi, eye byobusuubuzi ne yabamusiga nsimbi nga bawakanya omusolo omugya okuyita mu tteeka lya Textiles Policy gavumenti gwe yababereka ogwokusoloozo omusolo gwa doola 5 ku buli kilo eye byamaguzi ebikozesebwa okukola engoye bye basuubula ebweru ogumanyidwanga.
Mu kwogerako ne bannamawulire mu Kampala, omwogezi wa KACITA, Isa Ssekitto agambye nti omusolo guno tegwaleetebwa mu mutima mulungi.
Anyonyodde nti omusuubuzi eyasasulanga obukadde 300 okugyayo konteyina kati alina kusasula obukadde 400, ekiviriddeko bangi okulemererwa okugyayo emmali yaabwe.
Ono agamba nti bawuliddeko nti omusolo guno gugenderedde kutumbula makolero ga wano ekintu kyagambye nti era kikoleddwa mu kupapirira kuba Uganda terina bikozesebwa bimala singa tebasuubulako bweru
Wano wasabidde gavt okusuula omusolo guno oba si ekyo bakukolawo akatiisa.