Amawulire

Abasumba gwabasinga- Kkooti

Ali Mivule

February 19th, 2014

No comments

pastors sweat

Kkooti enkulu eremezzaawo ekibonerezo ekyaweebwa abasumba abana abagambibwa okuwayiiriza musumba munaabwe

Abasumba bano okuli Martin Ssempa, Michael Kyazze, Robert Kayiira ne  Solomon Male balagirwa okukola bulungi bwa nsi okumala essaawa 100 n’okusasula engassi ya kakadde kalamba lwakuwaayiriza omusumba Robert Kayanja nti asiyaga abalenzi abato.

Ng’awa ensala ye mu kujulirwa okwakolebwa abasumba bano, omulamuzi Joseph Mulangira agambye nti omulamuzi eyabawa ekibonerezo, Julius Borore yabawa n’ekibonerezo kitono nnyo okusinziira ku buzito bw’emisango.

Ono era agambye nti ensalawo ya kooti teyakolebwa kusinziira ku ngambo ng’abasumba bwebagamba kubanga nabo baweebwa obudde okwewozaako kyokka nebebuzabuuza okutuuka omulamuzi lweyasalawo.

Abasumba bano ekibonerezo kyabaweebwa mu mwaka 2012