Amawulire

Abasubuzi b’emmotoka e Masaka balajanidde URA

Abasubuzi b’emmotoka e Masaka balajanidde URA

Ivan Ssenabulya

September 19th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Abasubuzi b’emmotoka mu Kibuga Masaka nga beegattira mu kibiina kyabwe ki Masaka United Motor dealer’s Association balajanidde omukulembeze w’eggwanga n’ekitongole ekiwooza ky’omusolo baveeyo babayambe batte emmotoka zabwe zebaakwatira e Dar-es-salaam.

Ssentebe w’abasuubuzi bano Hajji Hamidu Bukenya ategeezezza nti emmotoka zino baamala okuzisasula e Japan nezitambula okutuuka e Dar-es-salaam kyokka olw’omuggalo, zakwamira awo.

Abasuubuzi bagamba nti mu kiseera kino banka zitandise okwagala okutwala amayumba gaabwe olw’amabanja agabali mu bulago nga n’omulimu gwabwe tegukyatambula bulungi.

Kati bano basabye ababaka babwe okuli owa East African Legislative Assembly Fred Mukasa Mbidde n’akulira oludda oluvuganya gavumenti nga ye Mubaka wa Nyendo-Mukungwe Mathias Mpuuga Nsamba babatusize eddoboozi eri gavumenti ku nsonga eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *