Amawulire

Abasubuuzi bogedde ku tteeka lya Landi Loodi nábupangisa

Abasubuuzi bogedde ku tteeka lya Landi Loodi nábupangisa

Ivan Ssenabulya

June 11th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Abasuubuzi bómu kampala abakakalabiza emirimu gyabwe mu akeedi bawakanya etteeka erikwata ku land loodi nómupangisa elyayisibwa.

Omukulembeze weggwanga gye buvudeko yatadde omukono ku mateeka 8 nga ne lino mwolitwalidde.

Mu tteeka lino omupangisa ne landiloodi batekeddwa okukola endagano nga omupangisa tanayingira nyumba.

Wabula sentebe wekibiina omwegatira abasuubuzi abakakalabiza emirimu mu bizimbe byomu akeedi ki Kampala Arcade Traders Association (KATA), Godfrey Katongole, yekokodde obumu ku buwayiro obuli mutteeka lino nga agamba nti bususuuta balandi loodi

Agambye nti sikyabwenkanya landiloodi okugoba omupangisa munju mu bbanga lya nnaku 30 nokutwala ebintu byómupangisa asobole okwesasula ensimbi ze ezobupangisa.

Katongole era ayagala akawayiro akawa landi loodi ebeetu okwongeza ensimbi zóbupangisa ne bintu 10% obutasuka mwaka kakyusibwemu kuba waliwo ba landi loodi abapaluula ebisale