Amawulire

Abasomesa mulambike abaana nga balonda amasomero gyebalaga.

Ivan Ssenabulya

February 15th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye .

 

 

Ministry ekola ku by’enjigiriza esabye  abakulu b’amasomero okutandika  okulambika abaana baabwe ku masomero gebalina okusaba , nadala ku mutenedera ogwa P.7 ne S.4.

Twogedeko  n’akulira akakiiko akasunsulamu abaana bano mu ministry ekola ku byobulamu Kule Benson n’agamba nti abaana abamu bamala gasaba amasomero nga tebafudeeyo oba banatuukiriza obubonero obwetagisa mu masomero gebasabye  okukakana nga basuuliddwa etala.

Kati ono asabye abakulira amasomero bonna okutwala akadde babulirire abaana bano nga tebanasaba masomero baleme okukola ensobi ezewalika.

Muntekateeka y’okusunsula abaana ba S.4 eno eyawedde akawungezi akayise abaana 200,000 bebaafunye amasomero, kyoka nga abaayita baali emitwalo 28,000 okukakana nga emitwalo munaana mpaawo abatutte.