Amawulire

Abasomesa batabuse

Ali Mivule

October 1st, 2014

No comments

teachers stick their guns

Ekibiina ekigatta abasomesa kitegeezeza nga bwekitagenda kwetaba ku mukolo ogw’okuggulawo kibiina ky’obwegassi eky’abasomesa nga bano bagamba nti abategese emikolo gyino bagala kuwudiisa omukulembeze w’eggwanga.

Kinajukirwa nti  minisituke y’ebyenjigiriza etegese okukyaaza omukulembeze w’eggwanga okuggulawo ekibiina ekigenda okufuna ezimu ku nsimbi obuwumbi obutaano pulezidenti zeyasuubiza abasomesa

Akulira omukago gw’abasomesa James Tweheyo ,atubuulidde nti basazeewo okwebalama entekateeka zonna , kubanga  minisitule esazeewo okuyisa ensimbi  mu kitongole kya gavumenti eky’obwegassi nga bano baba babajjako amagoba

Tweheyo agamba nti obukadde 700zeezimaze okukozesebwa

Wabula yyo minisitule  ekola ku by’enjigirizza erudde rudde ng’etegeeza ng’abasomesa bwebatalina bukugu bukozesa nsimbi nga zino, ssonga ssi buli musomesa nti ali mu UNATU.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *