Amawulire

Abasomesa batabuse- balumbye minisita

Ali Mivule

January 22nd, 2015

No comments

teachers stick their guns

Abasomesa wansi w’ekibiina kyabwe ekibataba balumbye  ekitebe kya minisitule y’ebyenjigiriza okubanja ensimbi zaabwe ez’ebibiina by’obwegassi.

W’owulirira bino nga batuuse ku kitebe kino okumanya lwaki tebaweebwa nsimbi zaabwe ez’okwekulakulanya

Abasomesa ne minisitule bali ku mbiranye olw’obuwumbi 25 obwaweebwa pulezidenti Museveni okugenda eri abasomesa mu bibiiba byawe eby’obwegassi nga minisitule eyagala ziyite mu kibiina ekiwozi ky’ensimbi ekya micro finance support Centre abasomesa kyabattakiriziganya nakyo.

Nga bakulembeddwamu ssabawandiisi waabwe James Tweheyo  bawerekeddwako poliisi okutuuka ku kitebe kino nga era kati basisinkanyemu minisita avunanyizibwa ku matendekero aggawaggulu Chrizistom Muyingo okwongera okumumunyamumunya mu nsonga eno.

Gyebuvuddeko Ssabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa bano  James Tweheyo y’ategezezza nti bbo baagala kimu , nsimbi zaabwe nga era singa tebazifuna akediimo kaabwe kaakugenda mu maaso mu kuggulawo ttaamu esooka nga 2 February.