Amawulire
Abasomesa basibiddwa emyaka 2
Abasomesa abasingisiddwa omusango gw’okulagajalira omwana n’agwa mu kidiba ky’essomero n’afa basibiddwa emyaka 2. Deborah Akado ne Florence Awori nga bano baali basomesa ku ssomero lya Acorn international school e Bukoto olunaku olweggulo omusango gw’okulagajalira Sunshine Baraza n’abbira mu kidiba ekimanyiddwa nga swimming pool nga 3rd September 2012 bwabasse mu vvi . Omulamuzi wa kkooti ya City hall Moses Nabende bw’abadde abakaliga ategezezza nti bano tebazzanga ku musango gwonna wabula olwobulagajavu balina okubonerezebwa. Okusooka abasomesa bano baasabye ekibonerezo ekitali kyakutwalibwa mu kkomera kubanga teyali nsobi yaabwe wabula y’abakulira essomero lino abaalemererwa okukuuma ekidiba kino.