Amawulire

Abasomesa balagiddwa okudda ku mirimu obutassuka lwa kutaano

Abasomesa balagiddwa okudda ku mirimu obutassuka lwa kutaano

Ivan Ssenabulya

June 22nd, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Govt okuyita mu minisitule evuananyizibwa ku bakozi ba gavt eragidde abasomesa bonna mu masomero ga gavt okudda ku mirimu obutasuka lwa kutaano luno nga 24th June 2022 abatakikola tebejjusanga.

Mu bbaluwa gyebawandikidde ekibiina omwegatira abasomesa mu ggwanga, omuwandiisi owenkalakalira mu minisitule eno Catherine Birakwate, agambye nti tewali musomesa oba ali mu kwekalakaasa oba nedda alina olukusa okuggala essomero lya gavt

Ono agambye nti yadde nga gavt mmalirivu okwongeza abakozi baayo omusaala wabula kino kiyinza obutasoboka mu mwaka gwe byensimbi 2022/23.

Ono agambye nti omusomesa anageza natalabikako ku nnaku endage Gavt yakukitwala nti tebakyayagala mirimu, ebifo byabwe bijjuzibwe.

Birakwate ategezeza nti omusomesa atali mwetegefu kukolera ku bukwakulizo buno waddembe okwabulira obusomesa.