Amawulire

Abasomesa bagenda kubatendeka okwetangira COVID-19

Abasomesa bagenda kubatendeka okwetangira COVID-19

Ivan Ssenabulya

September 13th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni, akyalindiririddwa okulangirira ddi, amasoero lweganaddamu okugulwawo.

Wabula minisitule yebyenjigiriza nemizannyo, olwaleero egenda kutandika omusomo ogulubiridde okulaga engeri yokutangiramu ssenyiga omukambwe mu masomero.

Omwogezi wa minisitule Dr Dennis Mugimba, bagenda kutandika nabalina okusomesa, oluvanyuma tiimu baakujisindika mu bitundu ebyenjawulo okusomesa abasigadde.

Mu mbeera eno, aagambye nti omuyaga ogwasooka gwajiramu okusomozebwa kungi era baliko byebayiga.

Kati Dr Mugimba era alabudde namasomero bakomye omuze gwokuzibira balwadde ba COVID-19.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *