Amawulire

Abasomesa ba pulayimale bakusiimibwa

Abasomesa ba pulayimale bakusiimibwa

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2019

No comments

Bya Damali Mukhaye, Gavumenti okuyita mu minisitule y’eby’enjigiriza n’emizannyo, etegezezza nga bwemalirizza entekateeka ez’okusiima abasomesa ba pulayimale, abakola obulungi okukira abalala.

Okusiima abasomesa bano kw’akubeera mu ttabameruka w’abasomesa, owa Teacher’s National Conference.

Bwabadde ayogerako ne banamwulire, minisita omubeezi ow’eby’enjigirza ebisokerwako, Rosemary Sseninde agambye nti basuubira omukulembeze w’e ggwanga okwetaba ku mukolo ogwo.

Kati abasomesa amakumi 50 be balondedwayo abagenda okusiimibwa okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Minisita era agambye nti baakusiima abasomesa 5 okuva mu buli kitundu eky’obwagagavu.

Ate awamu baakusiima abasomesa 3 abakize banaabwe mu ggwanga lyonna

Olukungana luno lwa kutandika nga 5 lukomekerezebwe nga 7 Sebutemba 2019, ng’abasomesa 3,000 bebasuubirwa okulwetabamu.