Amawulire

Abasomesa ba Lubiri High basindikibwa ku alimanda

Abasomesa ba Lubiri High basindikibwa ku alimanda

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abasomesa ba Lubiri High School, 2 abavunanibwa omusango gwobulagajavu bwebalemerwa okuziyiza abayizi okuwebuuka empisa mu baasi ne bazina amazina agatasaana, basindikibwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwamulamuzi Asuman Muhumuza ali mu musango gwabwe obutabaawo.

Lydia Nabakka ne Joseph Nsubuga babadde baleetebwa mu kkooti okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.

Kati omusango kwakudamu nga July 12th 2022 wansi womulamuzi Fedelis Otwoa.

Ku lwokutaano lwa ssabiiti ewedde ababiri bano balabikako mu kkooti ne bagulwako omusango gwobulagajavu nókulemerwa okuziyiza abayizi okuzza omusango.

Bano okukwatibwa kyadirira akatambi ka vidiyo akafuluma nga 10th june, akaalaga abayizi bessomero eryo abaali mu baasi nga bava ku mwoleso gwe byobulimi e jinja okutandika okuzina amazina agatasaana mu lujudde.

Ekikolwa kino kyavumirirwa nyo bannauganda na ddala abalwanirira eddembe lya bakyala, nga kyaletera abalabi okulowooza nti abayizi mu bikolwa byakwegadanga.

Kati oludda oluwaabi lunenya abasomesa bano okusigala nga batunulabutunuzi ku byonna ebyali bigenda mu maaso mu baasi