Amawulire

Abasoma obusawo e Mulago beediimye

Ali Mivule

April 8th, 2014

No comments

Doctors

Emirimu egimu gisanyaladde mu ddwaliro ekkulu e Mulago oluvanyuma lw’abayizi abasoma obusawo mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga bayambako mu kujanjaba mu ddwaliro lino, okwediima  lwabutasaulwa musaala kati giweze emyeezi 2.

Bano kati basazeewo kudda ku byaabwe mu bisulo byaabwe era bekolera gyaabwe.

Omwogezi w’eddwaliro Mulago hospital Enock Kusaasira akakasizza nga ddala bwewaliwo ekizibu kino naye nga kyakukolwako amangu ddala.

 Agamba kino kyavudde ku ministry y’ebyobulamu okusindika emisaala ku akawunti ekyamu ezitali z’abaawo bano .

Omulundi ogwasemba bano okwekalakaasa kyaava ku mbeera mbi ey’ebisulo gyebasula.