Amawulire

Abasoma obusawo batiisatiisiza okwekalakaasa lwa Musaala

Abasoma obusawo batiisatiisiza okwekalakaasa lwa Musaala

Ivan Ssenabulya

November 4th, 2022

No comments

Bya Moses Ndaye,

Abatendekebwa mu by’obujjanjabi balangiridde akeediimo akokuteeka wansi e bikola entabwe evudde kukyabutafuna musaala gufanagana wakati ng’eggwanga lilwanagana n’ekirwadde kya Ebola nómusaala ogulwawo okutuuka.

Abayizi bano abasoma obusawo, omuli abasoma obwa Dokita, ebyeddagala, Bannansi na bazaalisa, bagamba nti okumala Emyezi ebiri egiyise, tebasasulwa nsako yaabwe.

Ekibinja kyabayizi bano nga kikulembeddwamu pulezidenti waabwe Ronald Mutebi bagamba nti, okutandika nga 7th omwezi guno sibakudamu kukwata ku balwadde singa gavumenti tekola kunsonga zabwe.

Mutebi bw’abadde alangirira akeediimo kano, agambye nti yadde nga abakola mu by’eddagala abatendekebwa balina okusasulwa obukadde bwa sillingi bubiri n’ekitundu kino si bwekiri mu buliwo

Guno sigwemulundi ogusoose nga abayizi bano bava mu mbeera ne bekalakaasa.