Amawulire

Abasoma Obusawo badamu ssabiiti ejja

Abasoma Obusawo badamu ssabiiti ejja

Ivan Ssenabulya

August 7th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye

Akakiiko akavunanyizibwa ku byenjigiriza ebya waggulu aka National Council for Higher Education kalagidde amatendekero agasomesa ebyóbusawo okugulawo mu ssabiiti ejja.

Akulira akakiiko kano Prof Mary Okwakol agambye nti kino kyatukidwako mu nsisinkano gye babaddemu nakakiiko ka baminisita ne bakkiriziganya bukuyege amatendekero gano gatandike okusomesa abayizi abali mu mwaka gwabwe ogwa kamalirizo ate abasigadde bakugulwawo mu mitendera.

Wabula abakkiriziddwa okudda kusomero bateredwako akakwakulizo kakusooka kugemesebwa kirwadde kya covid-19 wamu nabasomesa babwe.

Amatendekero ga basawo okugulawo kidiridde ekiragiro kyomukulembeze weggwanga bweyalagira abayizi abasoma obusawo badeyo kusomero kuba eggwanga likyetaaga abasawo abawera naddala mu mbeera eno eyekirwadde ekyazinda eggwanga.

Kati mu matendekero agalina okugulawo mu ssabiiti ejja kuliko abayizi abasoma ebyokutabula ddagala, okulongoosa, ebyamaanyo, abazaalisa, abakola mu labalatole naba paramedical

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *