Amawulire

Abasoba mu Bukadde 3 Bebalamaze

Ivan Ssenabulya

June 3rd, 2017

No comments

By Damalie Mukhaye ne Ndhaye Moses

Namungi womuntu, abasobye mu bukadde 3 bebetabye mu kulamaga kwomwaka guno e Namugongo.

Obumu ku bubaka, Ssabasumba we saza ekulu elya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga akalaatidde abakirizza bonna okunywerera ku madiini gaabwe n’ebiragaano by’ebaakuba nga babatizibwa, sosi kutabaala mumadiini abagemeruka buli kadde.

Ssabasumba agamba nti abakirizza bonna bagwana babeere nemirandira nga kwogasse n’okwagala  nebanaabwe sosi kukuuma mitima eggyekko.

 

Mu kusooka, abakiriza bajjukiziddwa okwagalanga Katonda waabwe nemitima gyabwe awatali kutangatanga kwonna.

Buno bwebubadde obubaka bwomulabirizi we ssaza lye Hoima Rev. Father Vincent Kirabo, bwabadde akulembeddemu missa yokulamaga wali ku kiggwa kyabajulizi e Namugongo.

Rev. Father Vincent Kirabo avumiridde ekyabakiriza okuyimiriranga eno neri, nga befuula abagala Katonda atenga oluusi bakola biralala.

Ategezezza nti abajulizi ba Uganda basaana babeere ekyokulabirako.

 

Ate ku kigwa Kyaba-Anglican e Nakiyanja, obubaka bubadde kusonyiwagana nokubunya engiri eyemirembe.

Omulabiriiz we Butare mu gwanga lya Rwanda, Reverend Nathan Gasatura yakulembeddemu okusaba.

Ono ategezezza nti abatukola obubi balina kulwanyisibwa na kukola bulungi.

Wano ayogedde ku kusonyiwagana okutukiddwako wakati wamwanga agaali gesojja munda mu gwanga lya Rwanda, okuli abawutu nabatuusi nti basonyiwagana era kati bakolera wamu ebyemabega babyerabira.

Okulamaga kwomwaka guno kuvugidde ku mubala okunyweza okkiriza mu Katonda, nokutwala ekyokulabirako kyabajulizi