Amawulire

abasoba mu 600 babbira

Ali Mivule

March 19th, 2015

No comments

drowns

Ekitongole kya Poliisi yokumazzi kitegezezza nga abantu abasoba mu  600 bebabbira mu bubenje mu mazzi mu myaka 4 egiyise.

Ebizuliddwa biraga nga  658 bwebaafa wakati wa  January 2010 ne  December 2014 nga abasinga bafiira mu lyato eryagwa mu mazzi e Ggaba neritta abasoba mu 200.

 

Amyuka aduumira poliisi yokumazzi  Eng James Apora agamba obubenje bwokumazzi obusinga bwava ku mbeera ya budde mbi.

 

Ono era anenyezza ekitongole ekikola ku ntebereza y’obudde obutawereza ntebereza ya budde eri bantu okumanya ddis lwebatekeddwa okutambulira ku mazzi ne ddi okusigala ewaka.

 

Yniginiya bino abyogedde ayogerako eri bekikatako ku mussomo gw’okwewala okubbira mu mazzi.