Amawulire

Abasoba mu 500 bakuwanikibwa ku kalabba

Ali Mivule

March 24th, 2014

No comments

Morsi convicted

Kooti mu ggwanga lya Misiri eriko abaali abawagizi b’eyali omukulembeze Mohammed Mursi b’esalidde ogw’okufa

Bano basingisiddwa misango gyakutta mupoliisi n’okwonoona ebintu bya bantu

Bano bonna bamemba b’ekibiina kya Muslim Brotherhood era nga bano beebamu ku basoba mu 1200 abavunaanibwa emisango egyenjawulo.

Abakulembeze abali mu ntebe beefunyiridde okusirisa abawagizi ba Morsi nga bangi battiddwa n’okukwatibwa.

Abamu ku bawanikiddwa ku kalabba ye Mohammed Badie eyali awabula gavumenti ya Morsi.

Bano wabula kisuubirwa nti bakujulira