Amawulire

Abasirikale 4 bapooca oluvanyuma lwakabenje akagudde kulw’eMasaka

Abasirikale 4 bapooca oluvanyuma lwakabenje akagudde kulw’eMasaka

Ivan Ssenabulya

October 1st, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Abasirikale ba poliisi 4 babadusizza kipayoppayo okubatwala mu ddwaliro ekkulu e Masaka bwebafunye akabenje amakya ga leero.

Omwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda Muhamad Nsubuga agambye nti akabenje kano kaagudde ku kyalo Kidda ku luguudo lw’eMasaka.

Omugoba wa mmotoka ya poliisi kika kya Kangali, yamulemeredde neva ku luguudo neyevulungula.

Mmotoka eno eteomedd abasirikale ba poliisi ababadde ku duty ku mabbali gekkubo.

Okusinziira ku berabiddeko, mmotoka eno ebadde egobagana nomgoba wa pikipiki, kigambibwa eyagaanye okuyimirira ku musanvu gwa poliisi.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *