Amawulire

Abasirikale 2 babakubye amasasi e Kiboga

Abasirikale 2 babakubye amasasi e Kiboga

Ivan Ssenabulya

December 17th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Abasirikale ba poliisi 2 babakubye maasasai agabasse mu disitulikiti ye Kiboga.

Obutemu buno bubaddewo akawungeezi akayise, ku ssaawa nga 1 nekitundu, abazigu bwebabalumbye nebabasasirira amasasi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Rachel Kawala akaksizza obutemu buno.

Abagenzi kuliko Corporal Francis Nsubuga abadde atwala poliisi ye Nakasozi ne SPC Paul Dumba.

Agambye nti abasirikale bano babalumbye ku poliisi wennyini ebabadde batudde, abasajja 4 ababadde bebagalidde emigemera wala mu ngye ezabulijjo nebababatta.

Obulumbaganyi buno bubadd bwamulundi gwakubiri, mu nnaku 9 ngabairikale battibwa mu mbeera yeemu mu kitundu kya Wamala.

Gyebuvuddeko waliwo obutemu obwakolebwa ku basirikale e Mityana era 2 bebattibwa.

Awamu abasirikale 6 bebakatibwa mu kitundu kya Wamala, mu bbanga erymyezi 2, wabula poliisi etegezezza ngokunonyereza bwekugenda mu maaso.