Amawulire
Abasiramu abalala 19 basimbibwa mu kooti- emisango gyabutujju.
Bya Ruth Anderah.
Mu kooti:Nate ekiwayi ky’abasiramu abalala 19 leero batandise okuwerenemba n’emisango mu kooti enkulu nga bano bavunanibwa misango gy’akulya munsi lukwe.
Abamu kubavunanibwa kwekuli ne Aisha Nakasibante Nazaala wa Dr. Aggrey Kiyingi , nga bano bali ku gwakulya munsi lukwe, kko nobutatemya ku bakwasisa amateeka nga bategedde ensonga eno..
Obujulizi obuliwo bulaga nti bano baali bategese okuwamba government nga bakozeseza emundu wakati wa 2013 ne 2015 mu bitundu bye gwange eby’enjawulo okuli Uganda , Dubai , Kenya ne Tanzania .
Wabula nga omusango guno tegunatandika ebaluwa evudde ew’omuwabi wa government yejerezza omu kubavunaanwa Badru Bukenya .