Amawulire

Abasibe 6 batolose mu Kaddukulu e Bunyangabu

Abasibe 6 batolose mu Kaddukulu e Bunyangabu

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi mu disitulikiti y’e Bunyangabu eri mu kuyigga abasajja mukaaga abateeberezebwa okudduka mu kaduukulu ka poliisi.

Vincent Twesigye, omwogezi wa poliisi mu bitundu by’e Rwenzori agamba nti abakwate baatolose mu kaduukulu k’abakazi ku poliisi enkulu e Bunyangabu gye babadde batwaliddwa okumala akaseera okuggya omugotteko mu busenge bw’abasajja.

Twesigye avunaana ebyabaddewo ku bugayaavu bw’omukuumi eyali ku mulimu mu kiseera ekyo, era nga kitegerekese nti abasibe basoose kusika luggi lw’akasenge bwebabadde basula olw’embaawo okuyingira mu kkubo mwe baddukira.

Ono awadde amagezi poliisi obutakuumira nyo basibe mu budukulu okumala ekisera ekiwanvu.