Amawulire

Abasibe 2 bafiriidde mu budukulu bwa poliisi

Abasibe 2 bafiriidde mu budukulu bwa poliisi

Ivan Ssenabulya

October 13th, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Polisi e Masaka ebakanye nokunonyereza kungeri abasibe 2 gyebafiridde mu kaddukulu, e Masaka ne Bukomansimbi.

Abagenzi babadde bavunanibwa misango gyakusobya ku baana nobubbi, nga gyalopebwa wiiki eno wabula olwaleero basangiddwa nga bafu.

Omusibe afiridde mu kaddukulu ka poliisi e Masaka ye Ronald Kyeyune ngabadde mutuuze we Bisanje mu Kimanya-Kabonera nga yakwatibwa olwokubba ebyuma ku mmotoka ya priest we Bisanje.

Ow’e Bukomansimbi ye Jorum Lwakahinga nga yali yakwatibwa ku misango gyakusobya ku mwana.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu maserengeta ga Uganda Muhamad Nsubuga agambye nti omusibe we Bukomansimbi batebereza yeyetuze atenga owe Masaka alabika yafudde bisango byeyafuna olwabantu abamukuba bweyali akwatibwa.

Nsubuga agambye nti emirwambo baajitutte mu ddwaliro ekkulu erye Masaka okwongera okwekebejebwa.