Amawulire
Abaserikale musanvu bavunaniddwa mu kooti y’amagye.
Bya Ruth Anderah.
Kooti y’amagye e tuula e makindye eriko abaserikale 7 besindise ku alimanda nga bano balangibwa gwa kuwamba omusajja enzalwa ya Rwanda Joel Mutabazi eyali adukidde mu uganda okunoonya obubudamu
Abakaligidwa kuliko Joel Aguma, Nixon Agasirwe Karuhanga, James Magada, Benon Atwebembeirwe, Abel Tumukunde , Faisal Katende ne Amon Kwarisima.
Bano bavunibwa wamu ne banansi ba Rwanda 2 okuli Rene Rutangugira ne Bahati Mugenga Pacifique.
Oludda oluwabi nga lukulembedwamu Maj. Rapheal Mugisha lugamba nti bano nga 25th/October 2013 wali e Kamengo mu Mpigi district, bawamba Mutabazi ne bamuzza e Rwanda nga tebalina wadde olukusa
Bano balabiseeko mu maaso g’abalamuzi ba kooti eno musanvu nga bakulirwa Lt.Gen Andrew Gutti , wabula ye munamateeka wabavunanwa Caleb Alaka eky’okubateeka mu kooti yamaggye akiwakanyizza
Kati LT. Gen Gutti asazeewo nti basatu kubano okuli Aguma, Agasirwe ne Magada bagalirwe e Makindye mu komera lyamagye , songa omukaaga batwalibwe Luzira.
Bonna abakwatidwa baakudde mu kooti nga 20th Novemeber 2017.