Amawulire

Abasawo na’basomesa bakusasulwanga ennaku zebakoze

Ivan Ssenabulya

May 23rd, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abasawo nabasomesa ba gavumenti kakati bagenda kusalulwanga, nnaku zebakoze ngezo zebebulankanyizza ku mirimu ssi bakusasulwa.

Okusinziira ku akulira ebyokugula ebituntu mu wofiisi ya ssbaminista Prof Ezra Suruma, kino kyakukolebwa nga bayita mu byuma byebafunye okuva e Bungereza olwaleero nga bibalirirwamu emitwalo gya dollar 60 ebinalondoolanga.

Kuno kuliko biometric machines 52, computers 56, amasimu 60 nezzi printer 20 ezigenda okukozesebwa okulondoola emirimu mu mawliro 281 namasomero mu Buvanjuba bwa Uganda mu district nga Paliisa, Tororo ne Bududa.

Prof Suruma agambye nti gano gegamu ku makubo gavumenti geyiseemu okulwanyisa emizze gyabakozi okwebulankanya ku mirimu.

Kati akulira ekitongole kya DFID ekibakubyeko enkata eno Adrian Green agambye nti bawadde Uganda ebikozesebwa ngebbanja okukakasa n5ti balongoosa entambuza yemirimu.