Amawulire
Abasawo beetaga bweyamo mu buwandiike badde ku mirimo.
Bya samuel ssebuliba.
Abasawo abali mu kwekalakasa bategeezeza nga bwebali abategefu okudda ku mirimo gyabwe, singa government emala neteeka mu buwandiike ebweyamo bweyakoze nga eri n’abasawo bano akawungezi akayise.
Twogedeko ne ssentebe w’ekibiina kino ekitaaba abasawo ekya Uganda medical association Dr Ekwaro obuku n’agamba baawayizaamu ne ssabaminisita wa uganda Dr Ruhakan Rugunda ku nsonga zaabwe era bingi nebikanyizibwako, wabula nga kakano ekibulayo kwekubiteeka mu buwandiike.
Ono agamba nti singa gavumenti ekola kino,bbo baakudda ku mirimo.