Amawulire

Abasawo batiisatiisiza okuteeka wansi ebikola kulwa banaabwe

Abasawo batiisatiisiza okuteeka wansi ebikola kulwa banaabwe

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abasawo mu kibiina ki Uganda Medical Association, batiisizatiisiza okussa wansi ebikola singa gavumenti enagaana okwekuba mu kifuba ku kyasalidwawo, okuyimiriza banaabwe ababade bali mu kujanjaba ekilwadde ekya covid 19.

Minisitule eye byobulamu yafulumiza ekiwandiiko ekiyimiriza bano ku mirimu ngegamba nti tewakyaliwo nsiimbi zakubasasula.

Abasawo abogerwako bawandikibwa ku mirimu mu kiseera eggwanga bweryaali mu kulwanyisa ekirwadde kya covid 19, era nga bakolera mu malwaliro ga gavumenti, okwetoloola ebitundu bye ggwanga ebyenjawulo.

Pulezidenti wa UMA Dr Samuel Oledo, ategezeza banamawulire nti kyewunyisa okulaba nga gavumenti mu kifo kyokusasula basawo banaabwe ensiimbi zebabanja ezemyeezi esatu, ate esazewo kubayimiriza ku mirimu.

Okusinziira ku Oledo, guno ssi gwe mulundi ogusoose nga gavumenti esalako abasawo mu ngeri eno