Amawulire

Abasawo balumirizza munaabwe

Ali Mivule

February 12th, 2014

No comments

nurse killer

Abasawo mu kalwaliro ka Victoria Medical center balumirizza musawo munaabwe Rose Mary Namubiru ku kusiiga abaana obulwadde bwa mukenenya

Gertrude Kyomugisha nga musawo mukulu mu ddwaliro lino kko ne Dr Abbas Mubiru bategeezezza kooti nti omusawo ono lumu yakyogerako nabo nti yali akuba omusaayi mu baana b’akolako

Wabula bano bagambye nti omusawo yakikola apapa kubanga omwana yali akaaba

Bano bagambye ng’amaze okubagamba bamutwaala okumukebera era ng’omukyala ono mulwadde

Omukyala ono avunaanibwa kukuba mwana wa myaka ebiri omusaayi gwe.

Oludda oluwaabi lugamba nti Namubiru yekuba empiso ate n’akozesa empiso yeeu okukuba omwana omuto.

Omusango guno yaguzza nga 7 omwezi ogwa January