Amawulire

Abasawo Balinze Presidenti Museveni Bawe Endowooza Zaabwe kubyemyaka 75

Ivan Ssenabulya

September 20th, 2017

No comments

Bya Moses Ndaaye

Abasawo abakugu, bagodde ku bye kkomo ku myaka gyokululembeze we gwanga.

Abasinga kubanna-Uganda bakyebuuza ku obusobozi nembeera zobwongo bwomuntu owemyaka 75, obanga ddala aba assobola okufuga egwanga.

Kati abasawo abakugu bagamba bategese nabo okuwa endowooza zaabwe, ssinga banabatukirira okubebuzaako.

President owa Uganda Medical Association, ekibiina ekitaba abasawo mu gwanga Dr. Ekwaro Obuku agambye balinze omukulembeze we gwanga abasabe.

Bino webijidde ngekiteeso kigenda kuletebwa mu  palamenti, okuleeta ebbago okukwata ku  kawayiro 102 (b) aakateeka ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga 75 gyalina okukomako okufuga, nga ssemateeka bwalambika.

Kinajjukirwa omukulembeze we gwanga bweyabuzibwa ku nsonga zino, yagamba nti buli ayagala okumanya obanga owe 75 aba akyategeera okukulembera egwanga, abuuze abasawo