Amawulire

Abasawo balagidde omubaka Nambooze atwalibwe mu India.

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba.

Kyadaaki akakiiko akabasawo  abakugu omukaaga akaatekebwawo okunonyereza ku bulwadde obusenkenya omubaka we Mukono Betty Nambooze bawandiikidde minisitule ekola ku by’obulamu ebaluwa, nga bagitegeeza nga Nambooze bwagwana okutwalibwa e India ajanjabibwe.

Nambooze ono aludde nga ali mudwaliro lino wakati mubukuumi bwa polisi,  nga bwalinda okutwalibwa mu kooti awerenembe n’emisango egyekusaasa ku kwogera ebyakasalo ebyavaako n’okutta omubaka Ibrahim Abiriga.

Eyakulembedemu akakiiko kano Dr Byarugaba Baterana, era nga yakulira edwaliro lye Mulago agambye nti omukyala ono alina okugenda butereevu e india , era nga ebaluwa eno bagikwanze minister w’ebyobulamu abeeko kyakola.