Amawulire

Abasawo bagala banaabwe abafudde baliyirirwe obukadde 80

Abasawo bagala banaabwe abafudde baliyirirwe obukadde 80

Ivan Ssenabulya

July 22nd, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Uganda Nurses and Midwives Union, babanja nti buli musawo afiridde ku mulimu, gavumenti eriyirire famile ye, obukadde 80.

Bano bategezezza ngabasawo 50 bwebafudde ssenyiga omukambwe, oluvanyuma lwokukwatibwa obiulwadde ku mirimu, songa abalala 100 bali ku bitanda awamu 400 bebalwade.

Ssentebbe wekibiina kyabasawo Justus Cherop agambye nti ebibalo bino bigatiddwa okusinziira neku mirambo gyebazze bafuna okuva mu malwaliro agobwanannyini.

Annet Birungi ye muwanika wekibiina kyabasawo.