Amawulire

Abasawo ba kakensa balangiridde okuteeka wansi ebikola

Abasawo ba kakensa balangiridde okuteeka wansi ebikola

Ivan Ssenabulya

May 9th, 2023

No comments

Ritah Kemigisa. Abasawo abali ku daala lya ba Senior Medical Officer ng’olumu bayitibwa ba Midecal Officers Special Grade balangiridde nga bwebagenda okuteeka wansi ebikola okuva n’ekiro kya leero okutuusa nga omusaala gwabwe bagwongezza n’okukola enongosereza mu mannya agayitibwa offiisi zebakulembera.

Bano kwekuli abakugu abebuzibwako ku ba kyaala abali embuto, abebuzibwako bwekituuka mu kulongoosa, abebuzibwako ku ndwadde z’abaana.

Bano bategeez ezza nga nekyokukola ku balwadde abatalinda nakyo bwebakigaddewo.

Ng’abasinziira e Mulago ku kitebe ky’ekibiina ekigatta abasawo ki Uganda Medical Association, bano bategeezezza nga bwebaagala bayitibwe ba associate consultants kuba byebabayita mu kiseera kino tebyawurwa n’abasawo abalala ababulijjo.

Dr Joel Kimera agamba nti bino byebimu kubisinze okubaviirako akabasa kokuwebwa obusente obutono nga abakikola bekwasa obutalabawo njawulo bwekituuka ku misaala gyebabeera balina okufuna.

Bano baagala n’omusaala gwabwe gulinyisibwe okuva ku bukadde 6 okutuuka ku bukadde 11.

Mu lukungaana lwelumu, neba Senior House Officers (SHO) balangiridde nga n’obujanjabi bwebaba bawa abantu abali obubi kati nabwo bwebagenda okubukomya ku saawa zezimu 5 ez’ekilo kya leero.

Dr Mark Mayanga omwogezi waba SHO awadde abagoba bebidduka n’okusinigra ddala ababooda abasinga okuvaako obubenje obuviirako abantu abasinga obungi okubeera abayi, okwekomako mu kiseera kino nga abakugu b’okujanjaba abo abafunye ebisago ebyetaaga obukugu tebali ku milimu.

Kinajjukirwa nti ba Senior House Officers wamu n’abo abali ku Intern bateeka wansi ebikola sabiiti namba emabega nga baagala basasurwe ensako yabwe ey’emyezi egisoba mu 6 gyebabanja.

Bino byonna bidiridde gavumenti okulemererwa okubaako kyeyanukula ku nsale sale eyagiwebwa owa sabiiti enamba nga webutuukidde leero nga mpawo kyebawulizza wadde okuva eri Ministry ebatwala.