Amawulire

Abasawo abazalisa basazizaamu akediimo kaabwe

Ivan Ssenabulya

December 5th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ssentebbe wekibiina ekigatta abakozi mu gwana ekya National Organization of Trade Unions, Usher Wilson Owere atenderezza abasawo abazalisa olwokusazaamu akediimo kebabadde balangiridde okutandika nolwaleero.

Kino kidiridde okukaanya okwatukiddwako wakati wa gavumenti nabasawo bano, mu nsisinkano gyebetabyemu eyabadde ekubirizibwa ssbaminista we gwanga Dr. Ruhakana Rugunda.

Gavumenti yeyamye nti yakuddamu okwekennenya omusaala gwabasawo bano nabakozi ba gavumenti abalala, entekateeka bagamba gyebatandikako edda.

Kakati Owere era atenderezza nnyo gavumenti olwokwanukula mu bwangu ku mulanga gwabasawo.

Abasawo abazalisa bayite ba nurse babadde bagala okwongerwa ku musaala nebitundu 400%.

Abasawo emitwalo 23,000 bebali mu gwanga nga bagala wakiri asokerwako asasulwenga obukadde Shs 2.5 okuva ku mitwalo Shs47 zebasasulwa mu kaseera kano buli mwezi.