Amawulire

Abasawo abali mu kwekalakaasa batuula lwakutaano okusalawo ekisemba

Abasawo abali mu kwekalakaasa batuula lwakutaano okusalawo ekisemba

Ivan Ssenabulya

May 17th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Olukiiko olugatta abasawo lu Uganda Medical Association, lusazeewo okutuula ku lunaku lw’okutaano lwa sabiiti eno okusalawo ku biseera by’okuteeka wansi ebikola okugenda mu maaso eby’omumaaso.

Abasawo abakugu, wamu n’abanoonya obukugu ba Senior House Officers gattako abakyayiga aba Intern bateeka wansi ebikola gyebuuddeko nga baagala gavumenti etuukirize ebyetaago byabwe ebyakanyizibwako byebaludde nga bajijukiza.

Muno mulimu okusasula ensako y’abamu eyemyeezi 06, abalala emisaala gyabwe baagala gilinyisibwe okutuuka ku mutendera gw’obukugu bwabwe ate abalala nga baagala basindikibwe mu malwaliro gyebalina okufunira obukugu ekiluddewo okukolebwa nga bwekilagibwa mu mateeka.

Olunalu lwa leero, Minisitule y’eby’obulamu egenda kusisinkana abakulembeze b’abasawo abanoonya obukugu ba Senior House Officers, abasawo ku ddala lya Medical Officers Special Grades wamu ne ba Intern okwongera okukubaganya ebilowoozo ku kediimo kabwe akagenda mu maaso.

Olunaku lw’eggulo, wabaddewo ensisinkano n’abakulembeze b’abasawo aba Uganda Medical Association wabula nga mpawo kinene kyatuukiddwako okwawukanano n’ebyo ebyabadde byasaliddwawo edda olukiiko lwa ba Minisita.

Okusinziira ku Ssaabawandiisi wa Uganda Medical Association Dr. Herbert Luswata, kati balindiridde nsisinkano y’abasawo ne Ministry leero n’oluvanyuma ku lunaku lw’okutaano bano bakutuula nga bali wamu basalewo ekiddako.