Amawulire

Abasawo abakugu ab’ebuzibwako nabo bategeka kwekalakaasa

Abasawo abakugu ab’ebuzibwako nabo bategeka kwekalakaasa

Ivan Ssenabulya

May 4th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Abasawo abakugu mu ndadde enz’enjawulo mu gwanga, nabo bagasse ku bannabwe ba Senior Health Officers ne ba Intern okuwa gavumenti nsalesale nga bwebagenda okuteeka wansi ebikola singa Gavumenti tekola ku nsonga zibaluma zino nga bazze bazigitegeeza okuva emabega.

Bano kwekuli abasawo abebuzibwako abakola ogw’kulongoosa , abasawo ab’ebuzibwako ku ndwadde z’abakyaala abali embuto, abakugu ab’ebuzibwako mu ndwadde ezibalukawo mu baana n’ebika ebilala bingi.

Bano kati bagamba nti welunatukira olunaku olw’okubiri nga tebafunye kuddibwamu ku nsonga y’emisaala gyabwe egitagendera ku milimu gyebakola wamu n’okwawukana n’egyo gyebakkanyako, sibakuddamu kulinnya ku milimu n’okutadika ku lunaku olw’okubiri olwa sabiiti ejja.

Ssaabawandiisi w’abasawo wansi w’ekibiina ekibagatta ki Uganda Medical Association Herbert Luswata, atubuulidde nti bano babadde basazeewo n’okuva ku milimu okutandika ne leero wabula kwekubasaba balindeko balabe ekinaava mu lutuula lwa ba minisita ku lunaku lwa balaza olwa sabiiti ejja balyoke basalewo ekisemba.

Bino webwigwiriddewo nga abasawo abalala abanoonya obukugu abamanyiddwa ng aba Senior House Officers bayingidde olunaku olw’okuna nga batadde wansi ebikola.

Wabula nga bakola ku bujanjabi obutalinda wadde nga nabwo batiisatiisa okubuviiraako ddala singa ennaku 07 zinnagwako nga tebafunye mpulizo yonna kuva eri gavumenti ku nsonga zaabwe ezibaluma nga zekuusa ku kubasasula ensako yabwe gyebabanja kati emyeezi 06 milambilira emabega.

Babadde boogerako ne bannamawulire mu Kampala enkya ya leero.