Amawulire

Abasawo 2 babakutte lwakumansa kasasiro

Abasawo 2 babakutte lwakumansa kasasiro

Ivan Ssenabulya

December 21st, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abasawo 2 bebakwatiddwa n’amalwaliro 2 negaggalwa, olwokumansa akasasiro okuva mu malwaliro gaabwe mu bifo ebikyamu mu kibuga ky’eMukono.

Abakwate kuliko; Waiswa Cyrus ne Migadde Francis ngamalwlairo gaabwe gasangibwa ku kyalo Ngandu mu masekati gekibuga Mukono.

Kino kyadiridde abatuuze abalinaanye omwala gwe Nakawolole okwemulugunya ku bantu abasuula akasasironebiralala ebiva mu mu malwlairo mu kitundu kyabwe.

Bano bebalajana, ekyabagudde abakulembeze abakulembeze okusitukiramu.

Akulira eby’obulamu mu munisipaali y’e Mukono Dr Anthony Kkonde agambye nti basobodde okuzuula amalwaliro agabdde gasuula kasasiro ono.

Ono alaze okutya ku bulwaliro obugenze bumeruka, nga bumenya amateeka naddala mu kiseera kyomuggalo gwa ssenyiga omukambwe, nga bakozesa omukisa gwabobuyinza obutaberawo.