Amawulire
Abasatu bakwatibwa kubyókukukusa Amasanga
Bya Benjamin Jumbe,
Abantu 3 bagombedwamu oluvanyuma lwokusangibwa na masanga génjovu
Bano bakwatibwa abakozi be kitongole ekivunanyizibwa ku bisolo mu ggwanga ekya Uganda Wildlife authority nga bali wamu ne poliisi
Abakwate kuliko eyaliko omusirikale wa UPDF omutuuze we Kawempe nomukuumi ku kizimbe e Mulago.
Omwogezi we kitongole kya UWA Bashir Hangi ategezeza amasanga gano bagakukusa okuva mu Arua ku lunaku lwe bbalaza mpa Kampala mu baasi nga befuddle abatwala muwogo omukalu