Amawulire

Abasamirira e Kasubi bagobeddwa

Abasamirira e Kasubi bagobeddwa

Ali Mivule

June 29th, 2015

No comments

File Photo: Katikiiro wa Buganda

File Photo: Katikiiro wa Buganda

Ssabasajja Kabaka wa Buganda alagidde  Katikiro w’amasiro ge Kasubi agobe abatundirayo  eddagala wamu n’abo abasamirira mu kifo kino.

Okiragiro kino akitisse  Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu lukiiko lwa Buganda olugenda mu maaso wali e Bulange Mengo.

Beene era ayingidde mu kusika omuguwa wakati  wa Nalinya w’amasiro g’e Kasubi n’akulira okusereka amasiro Kaddu Kiberu.

Ssabasajja mungeri yeemu alagidde obuwangwa butambule n’omulembe mu kuzimba amasiro.

Olukiiko lwa Buganda lutudde  olunaku olwalero okusomerwa embalirira y’omwaka gwebyensimbi oyomwaka gwa  2015/2016.

Omwaka gwebyensimbi oguwedde obuganda bwatambulira ku mbalirira ya buwumbi 7 era nge ensimbi zino zasinga kuva mu kitongole kya Buganda eky’ebyettaka ekya Buganda land board,ekitongole kya nkuluze wamu nokutunda satifikeeti .