Amawulire

Abasajja ebyokulwanyisa ssiriimu babyesambye

Ivan Ssenabulya

December 1st, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abatakabanira ebyobulamu bakubye omulanga bingi ebikyetagisa okukola, okusikiriza abasajja okwetaba mu lutalo olwokulwanyisa akawuka ka mukenenya.

Okusinziira ku kunonyereza okugya okwakoleddwa abekibiina, Rakai Health Science Program abalwadde bakawuka abakyala abali ku ddagala bakola 72% nga bali waggulu wabasajja abali ku 61% mu district ye Rakai mwokka.

Okusinziira ku munonyereza omukulu Prof David Sserwadda, wetagisaawo enkola enyangu eri abasajja okulaba nga babsikiriza, okwetaba mu byokulwanyisa ssiriimu.

Ono awabudde nti gavumenti egwana okwongera ku budde bwokubudabuda nokugaba eddagala, okwetoola egwanga nabasajja, batera okukwatibwa emirimu, obutalkebwa bbali.